Ekitongole kyebyobulamu ekya Uganda Cares ekibudaabuda nokujjanjaba abantu abalina akawuka ka Mukenenya kiri mukutya okutagambika olwabalwadde abasoba mubitundu 25% bebajjanjaba abaatandika eddagala naye nga mukiseera kino baabula banoonya banoonye .
Kino kyasanguziddwa omukulembeze wekitongole kino atwala ebbendobendo lye Masaka Dr. Cecilia Nattembo kumukolo ekitongole kino kwekigabidde obugaali manyi gakifuba 20 eri abakulira abalwadde bamukenenya kubyalo bebajjanjaba abafunira obujjanjabi kuddwaliro e Masaka abagenda okuyambako mukufeffetta bannabwe kubyalo nokuyambako abo abatayina busobozi butuuka okufuna eddagala.
Kumukolo guno Dr Nattembo kwasinzidde nategeeza nti ekibakwasa ennaku abalwadde ababula nebava kuddagala ate embeera bwetabuka bagenda okudda obulamu bwabwe bubeera buzibu okudda.
Bwabadde annyonyola omuwendo gwabalina akawuka bebalabirira muggwanga lyonna nga Uganda Cares,agambye nti nomuwendo gwebalabirira e Masaka gukyali Munene naye baagala oluvanyuma lwemyaka etaano okuva kati nga bamaliddewo ddala abalwadde bassiriimu.
Akiikiridde Dr.Chalse Erima akulira eddwaliro ekkulu ery’e Masaka ng’ono ye musawo Mery Nyantalo,agambye nti okusoomozebwa okukyaliwo mukulwanyisa obulwadde buno bebakyala abataagala kugenda mumalwaliro nga bali mbuto abakyazaala abaana abalina akawuka.
Abawereddwa eggaali zino town clerk wekibuga Masaka Daniel Christopher Kawesi abasabye okuzikozesa obulunji okuyambako mukufeffetta abantu abataagala kwekebeza naabo abaatagala kumira ddagala abalowoozebwa nti bebamu kubakyasibyewo akawuka muggwanga lino.
Eggaali zino ezisoba mu 100 zebagaba, Uganda Cares eyambiddwako ekitongole kyensi yonna ekya World bicycle Relief nekya Bafalo bicycle Uganda ltd era bebabuwadde batubuulidde okusomoozebwa kwebabadde basanga nga tebazirina.