ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

Akulira oludda oluvuganya  Joel Ssenyonyi akulembedde banne aba NUP abasoba mu 15 nebateeka emikono ku kiwandiiko ekirubirira okujja obwesige mu ba Commisiona ba Palament.

Sabiiti ewedde Ababaka nga bakulembeddwamu owe Lwemiyaga Thedore Ssekikubo baatandiika okukunganya emikono egy’okujjamu ba Commisioner obwesige nga babalanga gwa kwegabira akasiimo ka bukadde 400 ne 500 awatali kusooka kwebuuza ku Palamenti eyawamu.

Ba Commissioner bebagala bagobwe kwekuli Mathias Mpuuga owa Nyendo – Mukungwe, Silwany Solomon (Bukoli Central MP) Esther Afyoyochan (Zombo District Woman MP) ne Prossy Akampulira (Rubanda Distrct Woman MP).

Oluvanyuma lw’okuteeka omukono ku kiwandiiko, Hon Ssenyonyi ategezezza nti ensonga eno bannakibiina kya NUP bwebajogerako mu kusooka, abasinga baabiyita byabufuzi ebyabyaali bitunulidde okutattana erinnya ly’eyali akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga  nga y’omu ku baagabana ku kasiimo akogerwako.

Ono alabudde Ababaka abatanaba kuteeka mikono ku kiwandiiko kino okukiteeka mu bwongo nti abalonzi babataddeko abiri.

Abamu ku babaka ba NUP abataddeko emikono okuli owa Mityana Francis Zaake n’owa Katikamu South Kirumira Hassan Lukalidde bawadde ensonga zabwe.

Ye ayimbye omutwe mu kukunganya emikono Hon Ssekikubo wetwogerera aliisa buti nga agamba nti watuuse, ensolo ku kizigo kweri.