Abagoba ba bodaboda mu kibuga Masaka basabiddwa okutereeza omulimo gwaabwe olw’ensonga nti waliwo abamenyi b’amateeka abatandise okubeerimbikamu.
Bino byoogeddwa omubaka wa Ggavumenti ow’ekibuga Masaka Hudu Hussein mu nsisinkano gy’abaddemu nabo wali ku yafeesiye n’abeebyokwerinda ebadde egendereddwaamu okutemera awamu empenda ku butya bwebasobola okumalawo obumenti bw’amateeka mu ba bodaboda n’okutereezaamu omulimo gwaabwe era n’ategeeza nga abavuzi ba bodaboda abamu bwebakozesebwa abamenyi b’amateeka okukola ebitajja nsa.
RCC Hudu era aliko bano by’abasabye okussa mu nkola bwebaba nga baakutereeza mulimo gwaabwe omuli okufuna regester, kkaadi y’omulimo gwaabwe n’ebirala.
Hudu era asabye aba bodaboda okubaako n’emirimo emirala gyebatetenkanya okusobola okuliikiriza omulimo gwaabwe basobole okwebeezaawo ng’okukola bbiizinensi entonotono beyambe n’enteekateeka za Ggavumenti ez’enkulaakulana.
Ate ye DISO w’ekibuga Masaka Muhammad Wetake naye asiinzidde wano n’ategeeza nga bwebalino ebino ebimu wano mu kibuga Masaka byebawezeemu ssiteegi za bodaboda omuli ebifo okuliraana ne bbanka, enkambi y’amagye ne Police, ku masundiro g’amafuta n’ebirala era n’asaba aba bodaboda okukolaganira awamu n’abebyokwerinda okulaba nga bamalawo obumenyi bw’amateeka mu bodaboda.
Ate bbo aba bodaboda nabo baliko ensonga zebanjulidde RCC awamu n’abebyokwerinda abalala ezibasoomooza zebaagala zikolebweeko oba bayambibweeko.
Ssentebe wa ba bodaboda mu bbendobendo lya Masaka Ssennabulya Abdullah asiinzidde naye wano n’ategeeza nga bwebagenda okkwaataganira awamu n’abebyokwerinda okulaba nga batereeza omulimo gwaabwe naddala kweebyo ebikkiriziganyiziddwaako.