
Enkya ya leero waliwo omulenzi abadde akedde okulunda embuzi mu kibira kya Kkumbu mu kibuga Masaka naagwa ku mulambo gw'omuntu atannaba kutegeerekeka kweekutemya ku bekikwaatako nabo abatemezza ku police ezze obukubirire n'ejjayo omulambo n'egutwaala mu ggwanika ly'eddwaaliro ekkulu erya Masaka.
Omulambo oguzuuliddwa gwa mwaami era ng'ono abadde mu mpale ya jean esibiddwaako omusipi ogwa langi eya kitaka ne T-shirt eya kitaka nga ayambadde ne nniigiina eza langi ya bbulu. Police esabye bwewabaayo eyabuliddwaako omuntuwe okugituukirira oba okutuukirira eddwaaliro lya Masaka Regional Referral Hospital
By Mildred Nakasaanya