ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

Eby’okutwala Bobi Wine ebweru bikyalubye

“Ekiseera kye yamala mu nkambi y’amagye e Makindye baali bamujjanjaba nga bamukuba eddagala. Kyokka abasawo tebamanyi kika kya ddagala lye baamukuba awamu ne bye baali bajjanjaba era wadde ab’e Lubaga babasabye lipooti ku ngeri gy’abadde ajjanjabwa bakyeremye,” Basalirwa bwe yagambye.

Yagasseeko nti babadde balina essuubi mu kakiiko ka Uganda Medical Board, kyokka nabo basusse okwebuzaabuza kuba balemeddwa okuwa omulwadde waabwe ebbaluwa emusemba okugenda ebweru ajjanjabwe.

Dr. Jackson Amone, omuwandiisi wa Uganda Medical Board bwe yatuukiriddwa eggulo yatujulizza muwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’e by’obulamu, Dr. Diana Atwine nti y’alina okusooka okumukkiriza okwogera n’abaamawulire.

Kyokka waliwo omukungu omu owa Medical Board ataayagadde kumwatuukiriza mannya eyagambye nti ensonga za Bobi Wine tezinnaba kujja mu ofiisi yaabwe.

Kyokka yagambye nti ne bwe zinajja tasuubira nti bayinza okuzikolako naddala mu kiseera kino ng’akyalina omusango mu kkooti.