ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

Gavt ekangavvule abaserikale abatulugunya abantu mu lujjudde - Mmengo

Bino byayogeddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Amb. Emmanuel Ssendaula ng’asisinkanye abantu okuva mu ggombolola ez’enjawulo mu Buddu ne Kyaddondo ku Lwokubiri ku Bulange - Mmengo nga baleese oluwalo lwabwe.

“Tusaba Gavumenti nti abakozi baayo abeenyigira mu kutulugunya Bobi Wine ne Zaake bakwatibwe bavunaanibwe mu mbuga z'amateeka. Twagala tukirabe nga bwe twalabye abantu nga bakubibwa. Tujja kusanyuka nga tekikoleddwa mu nkukutu wabula kisaasaane buli omu akirabe,” Amb. Ssendaula bwe yasabye.

Amb. Ssendaula era yeebazizza Omukubiriza wa Palamenti, Rebecca Kadaga olw’okuvaayo nga teyemotyamotya n’awandiikira Pulezidenti Museveni ebbaluwa ng’amusaba ategeeze eggwanga abaserikale abaatulugunya ababaka ba Palamenti ssaako ne Bannayuganda okutwalira awamu era n’asaba n’okuwabula okwakoleddwa Minisita owa guno naguli, Hajji Abdul Nadduli mwe yasabidde ebikolwa by’effujjo ebikolebwa abakuumaddembe bikendeere, kutwalibwe ng’ekikulu.