ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

E Masaka Abasomesa Benyamivu Olwabazadde Abatafudde Kubaana Abalina Akawuka Kamukenenya

Bya Matia Sebuwufu 

Abazadde abalina abaana abato abasoma nga balina akawuka ka mukenenya naddala mu masomero ga Primary basabiddwa okubafaako n’okutegeeza abasomesa ababasomesa ku buzibu bw’omwana kubanga abaana bangi balemereddwa okusoma olw’obutafibwako nga bekikwatako beesuuliddeyo gwa nnagamba  ne batuuka n’okuva mu masomero olw’okulwalalwala ng'abasomesa tebamanyi.

Okusaba kuno kukoleddwa omusomesa Namusoke Rahuma avunanyizibwa ku kubudaabuda abaana abalina ebizibu eby’enjawulo mu ssomero lya gavumenti erya Kinyerere C.U P,S mu ggombolola ye Mukungwe mu district eye Masaka.

Omusomesa ono mu nsisinkano gyabaddemu n’omusasi waffe Matia Ssebuwufu agambye nti abayizi bangi  abalina obulwadde bwamukenenya naye nga abazadde tebabayamba kubalabirira naddala okubawa ebyokulya mubudde okusobola okumira eddagala at’enga n’abamu tebabuulira kubasomesa bulwadde bw’abaana ne babeera mu kukosebwa oluusi nga tebamanyi.

Ono agambye nti kino kiri mu masomero mangi naye nga kiva ku bulagajjavu bw’abazadde obutafa ku baana baabwe n’obutakwatagana n’abasomesa ekintu ekireetera abaana okubonaabona nga balwala buli olukya olw’obutafibwako

Tusobodde okuwayamu n’omusomesa eyawummula Pauline Nabatanzi Lugemwa alondoola embeera ezitulugunya abaana mu maka,mu masomero ne mu bitundu gyebabeera mu ggombolola ye Kyannamukaaka mu kitongole kya FICHI Rakai Project, n’asaba amasomero obutaddamu kukkiriza mwana yenna nga muzaddewe tamaze kubategeeza mbeera yabulamubwe nabutya bwagenda okuyambibwa kubanga ekintu kino bakisanze mumasomero agawerako ekiremesezza nabaana abalwadde okusoma nga bannaabwe.