ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

KKOOTI E MASAKA ERAGIDDE ABATUUZE ABASOBA MU 500 OKWAMUKA ETTAKA

kkooti e Masaka eragidde abatuuze ku kyalo Kasanje mu Ggombolola ye Kyesiiga mu disitulikiti ye Masaka okwamuka ettaka ly’omugagga Joseph Bukenya mu myezi mukaaga gyokka.

Omulamuzi Deogratius Ssejjemba yakoze ekiragiro kino mu nsala ye gyawadde n’agamba nti abatuuze abawerera ddala 500 baasaalimbira ku ttaka eritali lyabwe.

Omugagga Joseph Bukenya yaddukira mu kkooti mu mwaka gwa 2009 okuwaabira abatuuze nga agamba babba ettaka lye eryamuweebwa abayindi okulikulakulanya.

Bwabadde awa ensala ye, Omulamuzi Ssejjemba agambye nti abatuuze baalemererwa okuwa kooti obujulizi obujimatiza nti ettaka lino baalifuna emyaka 12 emabega nga ssemateeka wa Uganda owa1995 tannakolebwa.

Omulamuzi era agambye nti bweyakyala ku ttaka lyabwe mu mwezi gw’okubiri omwaka guno, abatuuze baalemererwa okumulaga emiti nga emivule, emituba saako n’amayumba agamaze ku ttaka lino ebbanga lyebayita eryabwe emyaka 40 emabega,nabalagira baveeko bunambiro era singa beesisiggiriza kooti yaakukozesa omukono ogwekyuuma okubasengulako.

Wabula Joseph Bukenya asanyukidde ensalawo ya kkooti nagamba nti yabalabula dda abatuuze bave ku ttaka nebagaana.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Halima Nakalema ne sentebe w'ekyalo Kasanje Paul Buzaale naabalala bakukkulumidde Omulamuzi Ssejjemba nebagamba nti baakukola okujulira ku nsala ye.

Bya Sebuwufu Matia