ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

Abayizi Bali Kubunkenke Era Bakaaba, Ebibiina Mwebasomera Biri Yegeyege

Abayizi nabasomesa kussomero lya St.Mbaaga Mulema p/s muggombolola ye Kyesiiga mu ddisitulikiti ey'eMasaka bali mubweralikirivu olwembeera yekizimbe kyessomero ekyaagwa okuva omwaaka oguwedde,kyokka nga nokutuusa kussaawa yaleero tewaliiwo mbeera eraga nti linazimbibwa.

Essomero lya gavumenti lino lirina abayizi abasukka 200,eranga liva kukibiina ekisooka okutuuka kukyomukaaga wabula abayizi abasomera mukizimbe ekyaagwa,radio buddu beyogeddeko nabo batunnyonyodde nga bwebayita mumbeera embi ddala omuli enfuufu esusse eyonoonye ebitabo byaabwe byonna,empewo ebafuuwa awatali kiziyiza,obutasoma naddala mubiseera byenkuba nebirala

Tusobodde okwogerako n’omu kubasomesa abessomero lino Bukenya John natutegeeza nti abakulu kuddisitulikiti nemu ministry yebyenjigiriza bakimanyi naye tebalaba kikolebwa songa abaana bakosebwa mubuli mbeera yabudde,nga nobukuumi bwebintu byessomero omuli entebe nebirala tebakyabulina kubanga okuva essomero bweryaagwa omwaaka ogwaggwa buli muntu ebibiina ayingira nga bwayagala.

Mukwogerako nomukubiriza wolukiiko lweggombolola ye Kyesiiga Bbaale Mudasiru agambye nti ng'eggombolola tebalina busobozi buzimba ssomero lya gavumenti lino wabula bagezezzaako okwegayirira abakulu kuddisitulikiti ye Masaka emirindi egiwera naye tewali kikolebwa.

Radio buddu era ekiteggeddeko nti abekitongole kya Building Tommorrow ekiyambye ennyo okuzimba amasomero muggwanga naddala mubbendobendo ly'e Masaka ,yafeesi y’omumyuuka womukulembeze weggwanga yabatuukirirako kukizibu kino era nebakkiriza okuyambako okuzimba essomero lino olwembeera embi jeririmu.

Wabula mukuwayaamu nomukungu Edward Mbogo okuva muyafeesi y'omumyuka womukulembeze weggwanga alondoola ensonga zino ,kulukomo lwessimu atunnyonnyodde nti abekitongole kya building tomorrow singa baamala dda okuzimba essomero lino naye abakulira Minisitule yebyenjigiriza babayimirizaamu okuzimba amasomero olwenteeseganya zebakyaamaliriza.

Embeera mu Masomero ga ddisitulikiti ey'eMasaka naddala muggombolola ye Kyesiiga me Kyanamukaaka ssinnunji olwobutaba nakabuyonjo zimala nga nabazirina ezimu zajjula dda kyokka nga nebiibiina mu masomero agamu byetaaga kuddabiriza.

Bya Ssebuwufu Matia