ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

KATIKKIRO AKALAATIDDE ABAVUBUKA BABUGANDA OKWEGOBAKO EMBEERA Y'OBWAAVU

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga alaajanidde abavubuka ba Buganda bonna okuva mubyomuzannyo bakole basobole okwejja mubwaavu ngabavubuka bannaabwe abalala kubanga tebatondebwangako kubeera mumbeera mbi

Obubaka buno abuyisizza mu minister wabavubuka emizannyo n’okwewumuzaamu mu bwakabaka bwa Buganda ow’ekitiibwa Henry Ssekabembe munsisinkano nabavubuka abasukka mu 500 aba district y’e Kalungu ne Bukomansimbi abaasaba ensimbi zabavubuka eza youth Livehood program,eranga kumulundi guno akulira minisitulec  y’abaana abavubuka nekikula kyabantu yeyesitukidde ng’aliwamu nobwakabaka bwa Buganda okukwaasa abavubuka ensimbi zino.

Katikkiro asinzidde kubitebe bya Gavumenti zino Bukomansimbi ne Kalungu nagamba nti nga abavubuka ba Buganda tebakyasobola kubagumiikiriza kusigala mumbeera jebalimu nga balaba kwekusitukiramu ne Gavumenti eyawakati babayambe

Ono ayongeddeko nategeeza nti singa abavubuka ba Buganda beyambisa ensimbi zino obulunji yengeri yokka jebajja okufuna omugabo kuggwanga lino

Disitulikiti ye Bukomansimbi kikakasiddwa nti okuva mumwaaka gwebyensimbi 2014-2015 government bweyatandika okugabira abavubuka ensimbi zino ebibiina 112 byebyakaganyulwa,nga bakabawa ensimbi ezisukka mu 224m wabulanga bakazaayo 134m nga zino zikola ebitundu 62% kunsimbi zebakasassulako, wabula omwaaka gwebyensimbi guno 2018-2019 bafunye obukadde 173m nga bwakuweebwa ebibiina 17.

Ate yo dis eye Kalungu okuva 2014-2015 bakafuna 302m nga zino ziganyudde abavubuka 932 nga bano bava mubibiina 71 wabulanga bakasassulako 164m nga zikola 54%.

Omwaaka gwebyensimbi guno 2018-2019 abe Kalungu bafunye 236 nga zino zakuganyula abavubuka 278 abali mubibiina byonna ebifunye.

Mukubakwaasa ensimbi zino minister akulira abaana abavubuka nekikula kyabantu mu government yawakati Nakiwala Kiyinji agambye nti Omutanda yasaba government ya Uganda bakwatagane mukujja abavubuka ba Buganda mubwaavu nebakiyisa era waliwo nemisoso jebajjeemu wabula nalabula nti sizakuzannyiramu.

Ebibiina byabavubuka bino bisinze kwettanira nnyo project zakulunda mbizzi,okulima obutunda nebirime ebirala, okusuubula ebirime,okulunda enkoko nebirala.

Bya Matia Ssebuwufu