ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

BASSENTEBE BERALIKIRIVU OLWEMBEERA Y'OMUSANA MUKITUNDU

Bassentebe bebyaalo ebisangibwa mumuluka gwe Busoga muggombolola ye Kyamuliibwa mudisitulikiti ye Kalungu bali mukutya okwamanyi olwabantu baabwe okufiirwa ebirime byaabwe byonna byebasiga sizoni eno olwembeera y'obudde ekyuuse season eno olwengeri enkuba jetonnyamu nga mukiseera kino banji baweddemu dda essuubi kukiki ekiddako olwokusoberwa

Bassentebe bano okuli Kivumbi Dausi akulembera ekyaalo Busoga B, Mwesigwa Derick akulembera ekyaalo Nalunnya ne Walugembe Vicent owe Busoga A, mukwogerako ne Radio buddu bagambye nti okusinziira kukyeeya ekyalumba abantu baabwe tebasuubirayo makungula gonna eranga nabo ngabakulembeze bataabuddwa dda ekyokkola wabula  nebasaba Gavumenti  etaase abantu baabwe mumbeera eno

Bassentebe bongeddeko nti nenteekateeka za Gavumenti eziyambako abantu naddala mubakyaala nemubavubuka tebazirina okwekulakulanya mumirimu emirala nebasaba disitulikiti ye Kalungu ebalowozeeko naddala mukiseera kino

 

Radio buddu esobodde okwogerako nabatuuze mu kyamuliibwa nebatutegeeza nti olwenkuba okugaana okutonnya mubudde buli kimu baakikwasizza katonda kuba banji bakyasasaawa ebyaakala bwebasiga ebipya newankubadde obudde buweddeyo

 

Mu Uganda naddala kubalimi abalimira ku sizoni y'enkuba,buli mwaaka wabaawo sizoni bbiri okuli etandika mu mwezi ogw'okusatu n'ekoma mugw'omukaaga nga kwossa netandika mumwezi gw'omwenda n'ekoma mumwezi ogwa January eranga eno abalimi bajaagala nnyo kuba ebeera mpanvu nnyo.

Bya Ssebuwufu Matia