ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

Muto wa Kirumira attottodde engeri gye yasimattuse okufiira mu mmotoka mwe baamutemulidde

" Bakira avuga emmotoka nga ambuulirira nti buli kye nkola nnekwase katonda kuba tewali kimusinga okutuusa bwe twatuuse e Busega ne nvaamu," bw'atyo Kuteesa bw'ategeezezza.

MUGANDA wa Kirumira eyasimattuse okufiira mu motoka ya mugandawe atottottodde engeri gye yayise ku lugwanyu.

 

Baker Kuteesa muto wa Muhammad Kirumira eyabadde mu mmotoka ne baawukanira e Busega agamba nti yasimattuse okufa ne mukulu we nga ekyamuwonyezza kwekusalawo asule e Mpigi.

Agamba nti yasiibye ne Kirumira olunaku lwona nebagenda ku kabaga ka mukwano gwa Kirumira eKawuku bwebavuddeyo nebakyamako ekajansi olwo nebakomawo nebayita ku luguudo lwa Entebe exress High way nebagukira eBusega.

Wano Kirumira yamugambye bagende bonna asule ewuwe obudde buzibye kyokka n'asooka n'agaana wabula oluvannyuma n'akkiriza era baabadde basimbu n'akebera ku ssaawa nga tezinnawera ssaawa bbiri n'asalawo okulinnya ezidda e Mpigi.

Agamba nti Kirumira yamuvuze n'amutwala ku siteegi y'e Busega n'amuwa emitwalo ebiri n'amusiibula ku ssaawa emu n'eddakiika 40 n'ayolekera ewuwe e Bulenga kyokka zaabadde zakawera ssaawa 2:10 ez'ekiro ne bamukubira nga tannatuuka na Mpigi nti Kirumira bamukubye amasasi agamuddewo.

Agamba nti we yayawukanidde naye yasigadde mu mmotoka yekka wabula teyategedde mukazi gwe baamukubye naye masasi wa gye yamuggye.

" Bakira avuga emmotoka nga ambuulirira nti buli kye nkola nnekwase katonda kuba tewali kimusinga okutuusa bwe twatuuse e Busega ne nvaamu," bw'atyo Kuteesa bw'ategeezezza.